OKUWAAYO MU NSAWO Y'ENZIKIRIZA (#6246)

Abeemikwano gya Katonda bonna … basaana okuwaayo nga bwe basobola, ekiweebwawo kyabwe ne bwe kibeera kitono kitya.  Katonda tabinika muntu yenna omugugu gw’atasobola kwetikka.  Okuwaayo nga okwo kuteekwa okuva mu buli nkiiko zonna, n’abakkiriza bonna.  … Abange Mmwe Mikwano gya Katonda!  Mubeere bakakafu nti bwe munaawangayo, emirimu gyammwe egy’obulimi, n’obulunzi, amakolero gammwe, n’ebyobusuubuzi byammwe binaaweebwanga omukisa byeyongere okugaziwa, nga bivaamu ebirabo ebirungi n’emikisa.  Oyo yenna ajja n’ekikolwa ekirungi anaafunanga ekirabo nga kyekubisizzaamu emirundi kkumi.  Tewali kubuusabuusa nti Mukama omulamu anaakakasanga nnyo abo abakozesa obugagga bwabwe mu kkubo Lye.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

OKUWAAYO MU NSAWO Y'ENZIKIRIZA (#6247)

Ayi Katonda, Katonda wange!  Omulise ebyenyi by'abaagalwa Bo abamazima, era obabudeebude n’amagye ga bamalayika balyoke batuuke ku buwanguzi obwannamaddala.  Nywereza ebigere byabwe mu kkubo Lyo eggolokofu, era okuva mu kirabo Kyo eky'eddanedda obaggulire enzigi ez'emikisa Gyo; kubanga bakozesa ekyo Ggwe ky’obawadde mu kkubo Lyo, nga bakuuma butiribiri Enzikiriza Yo, nga bassa obwesige bwabwe mu kukujjukiranga Ggwe, nga basaddaaka emmeeme zaabwe ku lw'okukwagala Ggwe, era n’obutakodowalira bye balina ku lw’okusuuta Obubalagavu Bwo era ne mu kunoonya kwabwe okw’amakubo ag’okukusanyusa Ggwe.  
Ayi Mukama wange!  Obagerekere omugabo omunene okuliyirirwa okwategekebwa era empeera ekakasiddwa.  
	Ddaladdala, Ggwe Muwanirizi, Omuyambi, Oweekisa, Omugabirizi, Lugaba-Oweemirembe gyonna.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

